Leviticus 27:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Singa oli yeeyamanga okusinga abantu eri Omukama, olw'okutuukiriza obweyamo bwe n'ayagala okuwaayo omuwendo nga bw'ogubaliridde,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti: Omuntu bw’anaakolanga obweyamo obw’enjawulo obw’okuwaayo abantu eri Mukama naye ng’asasulayo miwendo egibagyamu, onoobasaliranga bw’oti:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Omuntu bw'aneeyamanga okuwonga abantu eri Mukama anaasobolanga okutuukiriza obweyamo obwo ng'awaayo emiwendo gy'ensimbi gino:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ategeeze Abayisirayeli nti: “Omuntu bw'aneeyamanga okuwonga abantu eri Mukama, anaasobolanga okutuukiriza obweyamo obwo, ng'awaayo omuwendo gw'ensimbi guno,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omuntu bw'anaatuukirizanga obweyamo, emibiri ginaabanga gya Mukama ng'okubala kwo bwe kunaabanga.