Leviticus 27:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennimiro bw'eteebwanga mu Mwaka ogw'Ekijaguzo, eneebanga ntukuvu, ya Mukama, ng'ennimiro eyawongerwa Omukama; erifuuka nnimiro ya bakabona, butaka bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu Mwaka gwa Jjubiri ennimiro eyo bw’eneeteebwanga, eneebanga ntukuvu eri Mukama, ng’ennimiro eyawongebwa ewa Mukama; eneebanga ya kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ennimiro bw'eneetuusanga jjubiri nga tenunuddwa eneebanga ya Mukama, era kabona anaagitwalanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mwaka ogw'okujaguza oguddirira, eneefuukiranga ddala ya Mukama ennaku zonna, n'eba ya bakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ennimiro bw'eneegenderanga mu jjubiri, eneebanga ntukuvu eri Mukama, ng'ennimiro eyawongebwa; eneebanga ya kabona ya nvuma.