Leviticus 27:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kabona alibalirira omuwendo gwayo ng'asinziira ku bungi bw'emyaka egisigadde okutuusa ku Mwaka ogw'Ekijaguzo; oli eyeeyama omuwendo aguwanga ku olwo lwennyini ng'ekitukuvu ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kabona anaabaliriranga omuwendo ogugigyamu okutuuka ku mwaka gwa Jjubiri, omusajja anaasasulanga omuwendo ogwo ku lunaku olwo ng’ekintu ekitukuvu eri Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kabona anaamubaliranga omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, okusinziira ku myaka egisigaddeyo okutuuka ku jjubiri, era agiwaddeyo anaasasulanga omuwendo ogwo okuba ogwa Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kabona anaabaliriranga omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, ng'alabira ku myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, agiwaddeyo n'asasula omuwendo ogwo ku lunaku olwo, ensimbi ne ziba za Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kabona anaamubaliranga omuwendo gw'ebintu bye walamula okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: era anaawanga ebintu bye walamula ku lunaku olwo, ng'ekintu ekitukuvu eri Mukama.