Leviticus 27:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ebiggulanda eby'ebisolo biba bya Mukama, tewali yeeyamanga kubisingira Mukama; ne bw'eba nte oba ndiga, ya Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tewabanga awaayo omwana gw’ensolo omubereberye eri Mukama, kubanga abaana b’ensolo ababereberye bonna ba Mukama, oba nte oba ndiga zonna za Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ensolo en'eggulanga enda oba nte oba ndiga, eba ya Mukama; teweebwangayo nga kiweebwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ensolo eggula enda, eba ya Mukama. N'olwekyo tewaabengawo agimutonera. Nga nte, oba nga ndiga, oba nga mbuzi, eba ya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wabula eggula enda mu nsolo, ebeera eya Mukama eggula enda, tewabangawo anaagitukuzanga; oba nga nte, oba nga ndiga, eba ya Mukama.