Leviticus 27:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ekintu kyonna omuntu ky'amaze okuwongera Omukama ng'akiggya mu bibye, kibeere muntu, kisolo, oba ttaka, tekiitundibwenga era tekiinunulibwenga; ekintu ekiwongeddwa Omukama mu ngeri eyo kiba kitukuvu nnyo, kya Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye omuntu yenna bw’anaamalanga okuwongera Mukama Katonda ku bintu bye by’anaabanga nabyo, gamba oba muntu oba kisolo oba ennimiro ye gye yasikira, tewaabengawo ku bintu ebyo bitundibwa oba okununulibwa; buli kintu ekiwongere ddala mu ngeri eyo kinaabanga kitukuvu nnyo eri Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku ebyo byonna omuntu bye yeeyama okuwaayo eri Mukama, oba muntu, oba nsolo, oba nnimiro, tebitwalibwanga era tebitundibwanga era tebinunulwanga; bya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye tewaabengawo kintu kiwongeddwa eri Mukama, omuntu ky'anaabanga awongedde Mukama ku byonna by'alina, k'abe muntu oba k'ebe ensolo oba ka kibe kibanja eky'obutaka, ekinaatundibwanga oba ekinaanunulibwanga. Buli kintu ekyawongerwa Mukama, kisigala nga kya Mukama ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tewabanga kiatu ekyawongebwa, omuntu ky'anaawongeranga Mukama ku byonna by'alina, oba nga muntu oba nga nsolo, oba nga nnimiro ya butaka bwe, ekinaatundibwanga oba ekinaanunulibwanga: buli kintu ekyawongebwa kiba kitukuvu nnyo eri Mukama.