Leviticus 27:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bw'abanga musajja wakati w'emyaka abiri n'enkaaga, mubalire ku sekeli eza ffeeza amakumi ataano ng'ogerera ku sekeli ekozesebwa mu Kitukuvu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omusajja aweza emyaka egy’obukulu egiri wakati w’amakumi abiri n’enkaaga anaaleetanga sekeri za ffeeza amakumi ataano, nga sekeri z’omu watukuvu bwe ziba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja ow'emyaka abiri (20) okutuusa ku myaka nkaaga (60), omuwendo gw'anaawangayo gunaabanga sekeri za ffeeza ataano (50), nga sekeri y'omuwatukuvu bw'eri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ogunaabalirirwanga ku mbala entongole ey'omu Kifo Ekitukuvu. Bw'anaabanga omusajja ow'emyaka okuva ku makumi abiri okutuuka ku nkaaga, zinaabanga sekeli amakumi ataano eza ffeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okubala kwo okw'omusajja eyaakamaze emyaka abiri okutuusa ku myaka enkaaga, okubala kwo kunaabanga sekeri za ffeeza ataano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri.