Leviticus 27:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ekitundu kyonna ekyekkumi mu nsi, kibeere ky'ebyo ettaka bye libaza, oba eky'ebibala eby'emiti, kya Mukama, kintu kitukuvu nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Buli kitundu eky’ekkumi ekiva mu nsi, gamba ku mmere ey’empeke eva mu ttaka, oba ku bibala ebiva ku miti, kya Mukama Katonda, era kitukuvu eri Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ensi, oba nga bya nsigo za nsi, oba nga bya bibala bya muti, bya Mukama; biba bitukuvu eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebirime ebikungulwa mu nsi, oba eky'ensigo, oba eky'ebibala by'emiti, kya Mukama. Kinaaweebwangayo gy'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ensi, oba nga bya nsigo za nsi, oba nga bya bibala bya muti, bya Mukama: biba bitukuvu eri Mukama.