Leviticus 27:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ebyekkumi byonna eby'eggana oba ekisibo, kwe kugamba buli nsolo ey'ekkumi eyita wansi w'omuggo gw'omusumba, biriba bitukuvu, bya Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebitundu eby’ekkumi byonna ebyamagana g’ente n’eby’ebisibo by’endiga, kwe kugamba nti buli nsolo omusumba gy’anaabalanga nga ya kkumi, eneebanga ntukuvu eri Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ente oba eby'endiga, buli eyita wansi w'omuggo, ebitundu eby'ekkumi binaabanga bitukuvu eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku nsolo enfuge, buli nsolo kkumi ezibalibwa, emu eneeweebwangayo eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ente oba eby'endiga, buli eyita wansi w'omuggo, ebitundu eby'ekkumi binaabanga bitukuvu eri Mukama.