Leviticus 27:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temwetaaga kulondamu nnungi oba mbi, wadde okuziwaanyisaamu. Bwe ziwaanyisibwamu, zombi ebaddewo n'ezze mu kifo kyayo zinaabanga ntukuvu, si za kununulibwangayo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tasaaniranga kulondamu nnungi ng’alekawo embi, oba okuwaanyisa. Bw’anaawaanyisanga ng’olwo ensolo zombi, eri n’eno ewanyisizibbwa zinaafuukanga ntukuvu teziinunulibwenga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Takeberanga oba nga nnungi oba nga mbi so tagiwaanyisanga, n'okuwaanyisa bw'anaagiwaanyisanga, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu, tenunulibwanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnannyini nsolo, taayawulengamu nnungi na mbi, era taaziwaanyisenga. Ensolo emu bw'anaagiwaanyisangamu endala, zombi zinaaweebwangayo eri Mukama, era teziinunulwenga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Takeberanga oba nga nnungi oba nga mbi so tagiwaanyisanga: n'okuwaanyisa bw'anaagiwaanyisanga, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu: tenunulibwanga.