Leviticus 27:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bw'abanga wakati w'emyaka etaano n'amakumi abiri, omusajja omuwendo gwe ogubaliranga ku sekeli makumi abiri, omukazi ku kkumi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu aweza emyaka egy’obukulu egiri wakati w’ettaano n’amakumi abiri, bw’anaabanga omusajja onoomusaliranga sekeri amakumi abiri naye omukazi sekeri kkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'anaabanga omulenzi ow'emyaka etaano okutuuka ku ataano, omuwendo gunaabanga sekeri abiri (20), n'omuwala sekeri kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'anaabanga omulenzi okuva ku myaka etaano okutuuka ku makumi abiri, zinaabanga sekeli amakumi abiri eza ffeeza, omuwala sekeli kkumi eza ffeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'anaabanga yaakamaze emyaka etaano okutuusa ku myaka abiri, kale okubala kwo okw'ow'obulenzi kunaabanga sekeri abiri, n'okw'ow'obuwala sekeri kkumi.