Leviticus 27:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bw'abanga wakati w'omwezi ogumu n'emyaka etaano, omulenzi omuwendo gwe ogubaliranga ku sekeli ttaano eza ffeeza, omuwala ku sekeli ssatu eza ffeeza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’anaabanga omwana ng’ali wakati w’omwezi gumu n’emyaka etaano, onoomusaliranga sekeri ttaano eza ffeeza nga mulenzi, naye omuwala sekeri za ffeeza ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulenzi ow'omwezi ogumu okutuuka ku myaka etaano, omuwendo gunaabanga sekeri za feeza ttaano n'omuwala sekeri za feeza ssatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana ow'obulenzi ali wansi w'emyaka etaano, zinaabanga sekeli ttaano eza ffeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'anaabanga yaakamaze mwezi gumu okutuusa ku myaka etaano, kale okubala kwo okw'ow'obulenzi kunaabanga sekeri za ffeeza ttaano, n'okubala kwo okw'ow'obuwala kunaabanga sekeri za ffeeza ssatu.