Leviticus 27:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyeeyama bw'abanga omwavu ng'omuwendo ogubaliriddwa taasobole kuguwa, gwe yasingawo amutwaliranga kabona, ye omuwendo gwe anaagumubaliranga ng'asinziira ku eyeeyama ky'asobola okuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu eyakola obweyamo bw’anaabanga omwavu ennyo atasobola kuleeta miwendo egyo gye wamusalira, anaayanjulwanga eri kabona; kale kabona anaamusaliranga omuwendo ogumugyamu ng’ageraageranya obusobozi bw’oyo eyeeyama nga bwe bunaabanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka oyo eyeeyama bw'anaabanga omwavu, nga tasobola kusasulira muwendo gwa muntu oyo, omuntu gwe yeeyama okuwaayo anaamuleetanga mu maaso ga kabona, n'amusalira omuwendo, ng'asinziira ku ekyo oyo awaayo ky'asobola okusasula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka oyo eyeeyama bw'anaabanga omwavu, nga tasobola kusasulira ku mbalirira eyo, omuntu gwe yeeyama okuwaayo anaamuleetanga mu maaso ga kabona, kabona n'amusalira omuwendo, ng'asinziira ku ekyo, oyo awaayo ky'asobola okusasula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'anaabanga omwavu okusinga okubala kwo, kale anaayimirizibwanga mu maaso ga kabona, kabona n'amusalira omuwendo; ng'obuyinza bw'oyo eyeeyama bwe bunaabanga, bw'atyo kabona bw'anaamusaliranga.

Recommended Reading