Leviticus 27:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Singa ensolo gye yeeyama okuwa eyinza okutambirirwa Omukama, ensolo ng'eyo esingiddwa Omukama eba ntukuvu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Obweyamo bw’omuntu bwe bunaabeeranga obw’ekisolo ekikkirizibwa ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda, ekisolo ng’ekyo ekiweebwayo eri Mukama Katonda kinaabanga kitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Obweyamo bwe bunaabanga obw'okuwaayo ensolo ekkirizibwa okuba ekirabo eri Mukama, olwo ebirabo byonna buli muntu by'anaawangayo eri Mukama, binaabanga bitukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Obweyamo, bwe bunaabanga obw'okuwaayo ensolo ekkirizibwa okuba ekitone eri Mukama, olwo ebitone byonna buli muntu by'anaawangayo eri Mukama, binaabanga bitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'eneebanga ensolo, abantu gye bawaayo okuba ekirabo eri Mukama, byonna omuntu yenna by'anaawangayo ku ezo eri Mukama binaabanga bitukuvu.