Leviticus 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oli bw'aweerezanga ekitambiro eky'okussa ekimu, ng'ekitone kye kivudde mu ggana oba mu kisibo, kibeerenga kisajja oba kikazi, Omukama amuweerezanga ekyo ekitaliiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omuntu bw’anaaleetanga ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, ekiweebwayo ekyo nga kya nte nnume oba nkazi gy’aggye mu kiraalo kye, ente eyo tebeerengako kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era omuntu bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe, ku nte oba nnume oba nkazi, anaawangayo eteriiko bulema mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'anaawangayo ekitambiro olw'okutabagana, anaawangayo ente enkazi oba ennume eteriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; bw'anaawangayo ku nte, oba nnume oba nkazi, anaawangayo eteriiko bulema mu maaso ga Mukama.