Leviticus 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona abyokeranga ku mwaliiro ng'ekyokulya ekiwongere Omukama n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo eri Mukama nga kyokeddwa mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto; ng'eky'okulya ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaayokeranga ebyo byonna ku alutaari ng'ekitone eky'ebyokulya ekiweebwayo eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaagookeranga ku kyoto: ekyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.