Leviticus 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'assa omukono gwe ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano. Batabani ba Aroni, bakabona, bamansiranga omusaayi ku mwaliiro okugwetoolooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez'ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bakabona banaamansiranga omusaayi gwayo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.