Leviticus 3:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino by'aliggyako ng'ekitundu ekiwongere Omukama n'omuliro: amasavu agabikkiridde ebyenda, na buli kyonna ekisava ekiriko,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo anaawangayo ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro ng’akiggya okwo: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku kiweebwayo ekyo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'awaayo eri Mukama ebitundu byayo bino, bibe ekitone ekiweebwayo ekyokebwa: amasavu gonna agali ku byenda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo anaawangayo ku yo ekitone kye, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,