Leviticus 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona abyokeranga ku mwaliiro ng'ekyokulya, ekitone ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa. “ ‘Amasavu gonna ga Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo nga kyokebwa mu muliro okuvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Amasavu gonna ganaabanga ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba eky'okulya eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaabyokeranga ku alutaari. Kye kitone eky'ebyokulya ekyokebwa, ekisanyusa Mukama. Amasavu gonna ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto: kye ky'okulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro olw'evvumbe eddungi: amasavu gonna ga Mukama.