Leviticus 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etteeka lino lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna, yonna gye bali: temulyanga masavu wadde omusaayi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ekintu kino kinaabeeranga etteeka ery’ebiro byonna okuyita mu mirembe eginaagendanga giddiriragana mu bifo byonna gye munaabeeranga. Temulyanga masavu wadde omusaayi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lino linaabanga etteeka eritajjulukuka emirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna, obutalyanga ku masavu newakubadde omusaayi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuulyenga ku masavu, wadde ku musaayi. Eryo linaabanga etteeka ery'olubeerera, lye munaakuumanga buli we munaabeeranga, ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lino linaabanga etteeka eritajjulukuka emirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna, obutalyanga ku masavu newakubadde omusaayi.