Leviticus 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukono anaaguteekanga ku mutwe gw'ekitone kye, n'akittira ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano. Batabani ba Aroni, bakabona, bamansiranga omusaayi ku mwaliiro okugwetoolooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo anaakwatanga omutwe gwakyo n’akittira ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; batabani ba Alooni, bakabona, ne balyoka bamansira omusaayi ku kyoto okukyebungulula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni bakabona banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Awo bakabona ab'olulyo lwa Arooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo gy'awaayo, n'agittira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni bakabona banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.