Leviticus 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ensigo zombi ko amasavu gaakwo agazibikka eno nga mu ndira, n'akabubi k'oku kibumba; aggyangako amasavu ago nga bw'akola ku nsigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, anaabiggyangako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekiserige ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako.