Leviticus 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino byonna batabani ba Aroni babyokeranga ku mwaliiro kungulu ku kitone eky'ekitambiro ekyokye ekiri ku nku ezikoledde, ng'ekitone ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale batabani ba Alooni banaabyokeranga kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Alooni banaabyokeranga ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona banaayokyanga ebyo byonna ku alutaari, awamu n'ekitone ekyokebwa ekiri ku nku ku muliro. Evvumbe ly'ekiweebwayo ekyo ekyokebwa, lisanyusa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Alooni banaagookeranga ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.