Leviticus 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oba oli ekitone akiggye mu kisibo olw'ekitambiro eri Omukama eky'okussa ekimu, aleetanga kisajja oba kikazi, naye nga tekiriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omuntu anaggyanga mu kisibo kye ekisolo ekisajja oba ekikazi nga tekiriiko kamogo, n’akiwaayo eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era Omuntu bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama ku mbuzi; oba nnume oba nkazi, anaagiwangayo nga teriiko bulema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'anaawangayo endiga, oba embuzi ng'ekitambiro olw'okutabagana, oba nkazi, oba nnume, anaawangayo eteriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama ku mbuzi; oba nnume oba nkazi, anaagiwangayo nga teriiko bulema.