Leviticus 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Assanga omukono ku mutwe gw'ekitone kye, n'akittira mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano. Olwo batabani ba Aroni bamansiranga omusaayi ku mwaliiro okugwetoolooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo anaateekanga engalo ze ku mutwe bw'ekiweebwayo kye, n'agittiranga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez'ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gw'ekitone kye, n'akittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bakabona banaamansiranga omusaayi gwakyo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekitone kye, n'agittiranga mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.