Leviticus 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku kitone eky'ekitambiro eky'okussa ekimu aggyangako ekitundu eky'okwokya ng'ekitambiro eri Omukama: amasavu n'ekikira kyonna ky'asalidde okumpi n'omugongo, n'amasavu agabikkiridde ebyenda, na buli kyonna ekisava ekiriko,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiweebwayo olw’emirembe ky’anaaleetanga okuwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama nga kyokebwa mu muliro, anaggyangamu bino n’abiwaayo eri Mukama: anaawangayo amasavu n’omukira gwonna n’amasavu gaagwo, nga gusaliddwako okumpi n’omugongo, n’amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekyokebwa n'omuliro eri Mukama; anaawangayo amasavu gaayo, omukira omusava omulamba, anaagusaliranga kumpi n'omugongo, n'amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bawaayo eri Mukama ebitundu bino eby'ekitambiro: amasavu, n'omukira ogwassava omulamba okusalira ku ggumba ery'omugongo, n'amasavu gonna agali ku byenda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era anaawangayo ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu gaayo, omukira ogwa ssava omulamba, anaagusaliranga kumpi n'omugongo; n'amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,