Leviticus 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu ngeri ye emu ng'amasavu bwe gaggyibwa mu nte olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Byonna ebyo kabona anaabyokeranga ku mwaliiro gw'ekitambiro ekyokye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
(nga bwe biggyibwa ku nte ey’ekiweebwayo olw’emirembe), bw’atyo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bwe gaggyibwa ku nte eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekiweerwako ebyokebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bwe biggyibwa mu nte ey'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, n'abyokera ku alutaari eyokerwako ebiweebwayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe gaggibwa ku nte eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekiweerwako ebyokebwa.