Leviticus 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kwe kugamba nti byonna ebisigaddewo ku nte ennume, abifulumyanga ebweru w'olusiisira, mu kifo ekirongoofu awayiibwa evvu ly'amasavu, n'abyokera ku nku n'omuliro; byokerwanga mu kifo awayiibwa evvu ly'amasavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ye sseddume yonna, anaagitwalanga wabweru w’olusiisira mu kifo ekiyonjo awayiyibwa evvu ly’ekyoto, anaatindiranga enku n’akuma omuliro n’agyokeranga okwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
byonna anaabitwalanga ebweru w'olusiisira, mu ekifo ekyateekebwawo ekiyiibwamu evvu; abyokerenga eyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kwe kugamba ente yonna, anaagitwalanga wabweru w'olusiisira, mu kifo ekirongoofu, ekiyiibwamu evvu, n'agyokera eyo ku muliro ku nku. Eyo awayiibwa evvu, gy'eneeyokerwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ente yonna anaagitwalanga ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu, ewu we lifukwa, agyokyenga n'omuliro ku nku: evvu we lifukwa eyo gy'eneeyokerwanga.