Leviticus 4:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ekibiina kya Yisirayeli kyonna bwe kikolanga ekibi, naye mu butanwa, nga kye bakola tebakitegedde, ne babaako bye bakola ku ebyo ebigaanibwa mu biragiro by'Omukama, banaabanga bazizza omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe kinaayonoonanga nga tekigenderedde, ne kikola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ekibiina ne bwe kinaabanga tekitegedde nti kisobezza, banaabanga bazzizza omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekibiina kyonna ekya Isiraeri bwe kinaasobyanga, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'ekitamanyibwa abasinga obungi mu kibiina, nga bazizza omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba ekibiina kyonna ekya Yisirayeli bwe kinaakolanga ekibi olw'okumenya ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira, ne kizza omusango nga tekigenderedde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kinaasobyanga, ekigambo ne kikwekebwa mu maaso g'ekibiina, era nga bakoze ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era nga bazzizza omusango;