Leviticus 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma bwe bategeera ekibi kyabwe, ekibiina kyonna wamu kinaaweerezanga olw'ekitambiro olw'ekibi, ente ennume ento; banaagireetanga mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibi ekikoleddwa bwe kinaategeerekekanga, ekibiina kinaaleetanga sseddume y’ente entoototo mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangu ng'ekibi ekyo kye bakoze kimanyiddwa, ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, banaagiretanga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ekibi olunaamanyikanga, ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka olw'ekibi, ne bagireeta mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekibi kye boonoonye bwe kinaamanyibwanga, awo ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ne bagireetanga mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu.