Leviticus 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo abakadde b'ekibiina, banaagissangako emikono ku mutwe mu maaso g'Omukama, ne bagittira mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze b’ekibiina banassanga emikono gyabwe ku mutwe gwa sseddume eyo mu maaso ga Mukama, sseddume eyo n’ettirwa mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakadde b'ekibiina banaateekanga engalo zaabwe ku mutwe gw'ente mu maaso ga Mukama; ne bagittira mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulu b'ekibiina banaateekanga ebibatu byabwe ku mutwe gwayo, nga bali mu maaso ga Mukama, n'ettirwa awo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakadde b'ekibiina banaateekanga engalo zaabwe ku mutwe gw'ente mu maaso ga Mukama: ne battira ente mu maaso ga Mukama.