Leviticus 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Oli bw'ayonoonanga mu butanwa, n'abaako ky'akola ku ebyo ebigaanibwa mu biragiro by'Omukama, anaakolanga ati:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti: ‘Bino bye biragiro eri buli muntu anaasobyanga ku mateeka ga Mukama nga tagenderedde, n’akola ekintu kyonna Mukama kye yalagira obutakikolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba abaana ba Isiraeri nti omuntu yenna bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'amala akola kyonna ku ebyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ategeeze Abayisirayeli nti buli anaakolanga ekibi, n'asobya nga tagenderedde mu kintu kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira, anaakolanga bino:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buulira abaana ba Isiraeri ng'oyogera nti Omuntu yenna bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'amala akola kyonna ku ebyo: