Leviticus 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe yakola ku nnume ey'ekitambiro olw'ekibi, bw'alikola ne ku nnume eno. Bw'atyo Kabona anaddaabirizanga olw'ekisobyo kyabwe, era olwo banaasonyiyibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’akola ku sseddume eno nga bwe yakola ku sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi. Bw’atyo kabona anaatangiririranga abantu bonna mu kibiina, era ne basonyiyibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'anaakolanga ente eno; kabona anaatangiriranga abantu ne basonyiyibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku nte eyo, anaakolanga nga bw'akola ku nte eweebwayo olw'ekibi, n'addaabiriza olw'ekibi ky'abantu, abantu abo ne basonyiyibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'anaakolanga ente; nga bwe yakola ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, bw'atyo bw'anaakolanga eno: ne kabona anaabatangiriranga, bo ne basonyiyibwa.