Leviticus 4:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ente ennume yennyini agifulumyanga ebweru w'olusiisira n'agyokya nga bwe yakola ku nnume eyasoose. Kino kye kitambiro olw'ekibi ku lw'ekibiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaafulumyanga sseddume eno ebweru w’olusiisira n’agyokya nga bwe yayokya sseddume eri eyasooka. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi ku lw’ekibiina ky’abantu bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo anaatwalanga ente ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bwe yayokya ente eyolubereberye; kye kiweebwayo olw'ekibi olw'ekibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo anaatwalanga ente eyo ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bw'ayokya eyo gy'aba awaddeyo olw'ekibi kye. Kino kye kiweebwayo olw'ekibi ky'ekibiina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo anaatwalanga ente ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bwe yayokya ente ey'olubereberye: kye kiweebwayo olw'ekibi olw'ekibiina.