Leviticus 4:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukulembeze bw'akolanga ekibi mu butanwa, n'abaako ky'akola ku ebyo ebigaanibwa mu biragiro by'Omukama, newandibadde ng'akikoze nga tamanyi, anaabanga azzizza omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omufuzi bw’anaayonoonanga nga tagenderedde n’akola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omukulembeze yenna bw'ayonoonanga, nga tagenderedde mu kigambo kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, ng'azzizza omusango;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omufuzi bw'aba ye akoze ekibi, n'azza omusango olw'okumenya nga tagenderedde ekimu ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukulu yenna bw'ayonoonanga, n'akola nga tamanyiridde ekigambo kyonna kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango;