Leviticus 4:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Assanga omukono ku mutwe gwayo n'agittira mu kifo awattirwa ekitone ky'ekitambiro ekyokye mu maaso g'Omukama; kino kitambiro olw'ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anagikwatanga ku mutwe gwayo, n’agittira awo mu maaso ga Mukama we battira ebiweebwayo ebyokebwa. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'embuzi, n'agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; kye kiweebwayo olw'ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari, we battira ensolo ez'ebitambiro ebyokebwa mu maaso ga Mukama. Kino kye kiweebwayo olw'ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'embuzi, n'agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo olw'ekibi.