Leviticus 4:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo kabona addiranga ku musaayi gw'ekitambiro olw'ekibi, n'aguteeka ku mayembe g'omwaliiro ogw'ekitambiro ekyokye n'olugalo lwe, ate ogusigaddewo n'aguyiwa awo wansi w'omwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi gw'ekiweereddwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyokerwako ebiweebwayo. Ogusigaddewo n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa.