Leviticus 4:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amasavu go agookeranga kungulu ku mwaliiro, nga bw'akola ku kitambiro eky'okussa ekimu. Bw'atyo Kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'omukulembeze, era olwo anaasonyiyibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto okwo, okufaanana ng’amasavu olw’ekiweebwayo olw’emirembe bwe ganaayokebwanga. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omufuzi oyo olw’ekibi kye, n’asonyiyibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng'amasavu aga ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye, naye anaasonyiyibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku alutaari, ng'amasavu g'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'omufuzi, omufuzi oyo n'asonyiyibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng'amasavu aga ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye, naye anaasoyiyibwanga.