Leviticus 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kabona omusiige bw'akolanga ekibi, n'aleetera atyo abantu okugwa mu musango, olw'ekibi kye ekyo ky'akoze, atoolanga mu ggana ente ennume ento etaliiko kamogo ng'ekitone eri Omukama olw'ekitambiro olw'ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Singa Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ayonoona, bw’atyo abantu n’abaleetako omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze, anaaleeteranga Mukama ente ennume entoototo etaliiko kamogo, nga kye kiweebwayo eri Mukama olw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kabona eyafukibwako amafuta bw'anaayonoonanga n'okuleeta n'aleetera abantu omusango; anaawangayo eri Mukama ente ennume envubuka, eteriiko bulema, okuba ekiweebwayo olw'ekibi ky'akoze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ssaabakabona bw'anaakolanga ekibi, bw'atyo n'aleetera abantu be omusango, anaawangayo eri Mukama olw'ekibi kye, ente ennume envubuka eteriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kabona eyafukibwako amafuta bw'anaayonoonanga n'okuleeta n'aleetera abantu omusango; awo awengayo olw'ekibi kye ky'ayonoonye ente ennume envubuka eteriiko bulema eri Mukama okuba ekiweebwayo olw'ekibi.