Leviticus 4:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo kabona anaddiranga ku musaayi gw'ekitambiro olw'ekibi, n'aguteeka ku mayembe g'omwaliiro gw'ekitambiro ekyokye n'olugalo lwe, ate ogusigaddewo n'aguyiwa awo wansi w'omwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona anaddiranga ku musaayi gwakyo n’olugalo lwe n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyokerwako ebiweebwayo, omusaayi gwayo gwonna n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto.