Leviticus 4:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amasavu gonna agaggyangako, ng'amasavu bwe gaggyibwa ku kitone ky'ekitambiro eky'okussa ekimu, olwo kabona n'agookera ku mwaliiro ng'ekitambiro, ng'akawoowo akasanyusa Omukama. Bwatyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe, era olwo anaasonyiyibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amasavu gaakyo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu; kabona anaagookeranga ku kyoto ne gavaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaagiggyangamu amasavu gaayo gonna nga bwe gaggyibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amasavu gaayo gonna anaagaggyangamu ng'amasavu bwe gaggyibwa mu kitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, n'agookera ku alutaari, evvumbe lyago eddungi lisanyusa Mukama. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'omuntu oyo, omuntu oyo n'asonyiyibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; era kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga.