Leviticus 4:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bw'abanga aleese ndiga ng'ekitone olw'ekitambiro olw'ekibi aleetanga akaliga kaluusi, akataliiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’anaabanga aleese endiga ento ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, anaaleetanga nkazi etaliiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era bw'anaaleetanga omwana gw'endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga nkazi eteriiko bulema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'anaaleetanga endiga nga kye kitone ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga nkazi eteriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'aleeta omwana gw'endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga enkazi eteriiko bulema.