Leviticus 4:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aggyangako amasavu gonna, nga bwe gaggyibwa ku kaliga k'ekitambiro eky'okussa ekimu, n'agookera ku kitone eky'ekitambiro olw'ekibi ku mwaliiro ng'ekitambiro ekiwongere Omukama n'omuliro. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe olw'ekibi kye kye yakola, era olwo anaasonyiyibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amasavu gaayo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu, era kabona anaagookeranga ku kyoto ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaggyangamu amasavu gaayo gonna, ng'amasavu g'omwana gw'endiga bwe gaggyibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro ekya Mukama; awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'akoze, naye anaasonyiyibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amasavu gaayo gonna n'agaggyamu, nga bwe baggyamu amasavu g'endiga eweebwayo olw'okutabagana, n'agookera ku alutaari, awamu n'ebyokulya ebiweebwayo eri Mukama. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'oyo ayonoonye, era oyo anaasonyiyibwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu g'omwana gw'endiga bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona annabyokeranga ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye, naye anaasonyiyibwanga.