Leviticus 4:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona addiranga ogumu ku musaayi ogwo n'agussa ku mayembe g'omwaliiro ogw'obubaani mu maaso g'Omukama oguli mu Weema ey'Ensisinkano. Omusaayi omulala gwonna ogusigaddewo aguyiwanga awo wansi w'omwaliiro ogw'ekitambiro ekyokye oguli ku mulyango gwa Weema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona anaddiranga ku musaayi, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto okwoterezebwa obubaane obw’akawoowo, ekiri mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi gwa sseddume ogunaasigalangawo gwonna, anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaasiiganga ogumu ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu Weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo anaatoolanga ku musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyoterezebwako obubaane obw'akaloosa mu maaso ga Mukama mu Weema. Omusaayi gwonna ogusigaddewo anaaguyiwanga ku ntobo y'alutaari eyokerwako ebitambiro, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogw'ente anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.