Leviticus 4:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Aggyangamu amasavu gonna ag'ente ennume ey'ekitambiro olw'ekibi, agabikkiridde ebyenda na buli kyonna ekisava ekiriko,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amasavu gonna aganaabanga mu sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, anaagaggyangako: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anagiggyangamu amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ente eyo eweebwayo olw'ekibi, anaagiggyangamu amasavu gonna agali ku byenda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amasavu gonna ag'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi anagiggyangako; amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,