Leviticus 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oli bw'ayonoonanga olw'obutoogera ng'abadde asabiddwa okuwa obujulizi ku kintu ky'alinako obujulizi, kye yalaba oba ky'amanyiiko, aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omuntu bw’ategyengayo ku kintu ky’amanyi, n’awa obujulirwa ku kintu kye yalaba oba kye yawulira nga kikyamu, anaabanga azzizza omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuntu bw'alayizibwa okuwa obujulizi, n'atayogera kye yalaba oba kye yamanya, aba azzizza omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'alayizibwa okuwa obujulizi, n'atayogera kye yalaba oba kye yamanya, aba azzizza omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'omuntu yenna ayonoona, ng'awulira eddoboozi ery'okulayiza, oba nga mujulirwa, oba nga yalaba oba nga yamanya, bw'ataakyogerenga, kale anaabangako obubi bwe: