Leviticus 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo n'aweereza akalala ng'ekitambiro ekyokye okuddaabiriza olw'ekibi kye ng'etteeka bwe ligamba. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe olw'ekibi kye yakola, olwo anaasonyiyibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokubiri nga kye kiweebwayo ekyokebwa ng’agoberera ebiragiro nga bwe bigamba. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye ky’anaabanga akoze, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ak'okubiri anaakawangayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ng'ekiragiro bwe kiri; ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'akoze, naye anaasonyiyibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo anaawangayo enjiibwa endala, ebe ekiweebwayo ekyokebwa, ng'etteeka bwe liri. Bw'atyo kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi ky'akoze, omuntu oyo n'asonyiyibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era anaawangayo ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ng'ekiragiro bwe kiri: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye, naye anaasonyiyibwanga.