Leviticus 5:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Obanga taasobole kufuna mayiba abiri oba obuyiibwa obubiri, aweerezanga olw'ekibi kye ekyekkumi kimu ekya efa eky'obuwunga obw'eŋŋano olw'ekitambiro olw'ekibi. Tassangako muzigo, wadde obubaani, kubanga kino kitambiro lwa kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omuntu oyo omwavu bw’anaabanga tasobola kuleeta bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri, anaaleetanga ekiweebwayo olw’ekibi kye, kimu kya kkumi ekya efa eky’obuwunga obulungi okuba ekiweebwayo kye olw’okwonoona. Taabuteekengamu mafuta wadde obubaane, kubanga kiweebwayo olw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'anaabanga n'ebintu ebitono nga tasobola kuwaayo bu kaamukuukulu bubiri oba amayiba amato abiri, kale anaaleetanga ekitundu eky'ekkumi ekya efa ey'obutta obulungi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi ky'akoze, naye tateekangako mafuta wadde omugavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omuntu bw'anaabanga tasobola kuwaayo njiibwa bbiri, oba mayiba abiri, olw'enfuna ye entono, anaaleetanga kilo emu ey'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Taateekengako muzigo wadde obubaane, kubanga kye kiweebwayo olw'ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oba ng'ebintu bye bitono n'okuyinza n'atayinza bukaamukuukulu bubiri, newakubadde amayiba amato abiri, kale anaaleetanga okuba ekitone kye olw'ekigambo ky'ayonoonye, ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi; tateekangako mafuta, so tateekangako mugavu: kubanga kye kiweebwayo olw'ekibi.