Leviticus 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuwunga abuleeteranga Kabona, ono n'atoolako olubatu lulamba, ng'ekitundu kyakyo eky'ekijjukizo, n'abwokera ku mwaliiro kungulu kw'ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro. Kino kitambiro lwa kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaakireeteranga kabona, era kabona anaatoolangako olubatu, nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokera ku kyoto, ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Kino nga kye kiweebwayo olw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaabuleetanga eri kabona, naye anaayolangako olubatu ng'ekijjukizo, n'abwokera ku kyoto eky'ebiweebwayo bya Mukama ebyokebwa n'omuliro; kye kiweebwayo olw'ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaabuleetanga eri kabona, kabona oyo n'atoolako olubatu, nga ke kabonero akalaga nti bwonna buweereddwayo eri Mukama, n'abwokera ku alutaari ng'ekiweebwayo ekyokebwa. Kye kiweebwayo olw'ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo anaabuleetanga eri kabona, kabona n'abutoolako olubatu lwe okuba ekijjukizo kyabwo, n'abwokera ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: kye kiweebwayo olw'ekibi.