Leviticus 5:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe olw'ebibi bye bino by'aliba akoze, era olwo anaasonyiyibwanga. Ekitundu ekisigadde eky'ekitone kinaddiranga kabona nga bwe kiri ku kitone eky'obuwunga.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi ky’anaabanga akoze mu bintu ebyo byonna, era anaasonyiyibwanga. Ebyo byonna ebinaasigalangawo ku kiweebwayo kino binaabanga bya kabona, nga bwe kiri mu biragiro by’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'akoze, mu bigambo ebyo byonna, naye anaasonyiyibwanga; n'ekitundu eky'obutta ekinafikkangawo kinaabanga kya kabona.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi ky'akoze, omuntu oyo n'asonyiyibwa. Obuwunga obusigaddewo bunaabanga bwa kabona, nga bwe kiba ku kiweebwayo eky'emmere ey'empeke.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye mu bigambo ebyo byonna, naye anaasonyiyibwanga: n'ekitundu ekinaafikkangawo kinaabanga kya kabona, ng'ekiweebwayo eky'obutta.