Leviticus 5:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne kye yafiiriza ku bitukuvu akiriwanga, n'asukkirizaamu ekyokutaano kimu eky'ekyo kye yafiiriza, n'akiwa kabona, ono anaaweerezanga endiga ennume ng'ekitambiro olw'omusango okuddaabiriza olw'ekibi kye era olwo anaasonyiyibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era anaaliwanga olw’ekyo kye yazzaako omusango mu bitukuvu bya Mukama, era anaayongerangako ekitundu kimu ekyokutaano eky’omuwendo gw’ekyo ky’anabanga asobezza; engassi eyo anaagiwanga kabona. Kabona anaatangiririranga omuntu oyo n’endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango, bw’atyo anaasonyiyibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era anaaleetanga n'ekyo kye yalemererwa okusasula, n'ayongeramu ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano, n'akiwa kabona, anaamutangiriranga n'endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusango, naye anaasonyiyibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era anaaleetanga n'ekyo kye yalemererwa okusasula, n'ayongeramu ekitundu kyakyo ekyokutaano. Anaakireetanga eri kabona, kabona n'amuddaabiririza ng'awaayo ekitambiro eky'endiga ennume ey'omutango, omuntu oyo n'asonyiyibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era anaagattanga olw'ekigambo ky'asobezza mu kigambo ekitukuvu era anaakyongerangako ekitundu eky'ekkumi, n'akiwa kabona: ne kabona anaamutangiriranga n'endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusango, naye anaasonyiyibwanga.